Covenant Protestant Reformed Church
Bookmark and Share

Nzikiriza ey'eNicea

 

Nzikiriza Katonda omu. Patri omuyinza wa buli kantu, eyakola eggulu n’ensi, na byonna ebirabika n’ebitalabika.

Nzikiriza n’Omukama omu Yezu Kristu, Omwana omu ati owa Katonda, Patri gw’azaala nga n’emirembe gyonna tiginnabaawo. Katonda ava mu Katonda, Ekitangaala ekiva mu Kitangaala, Katonda ddala ava mu Katonda ddala. Yazaalibwa buzaalibwa, tiyatondebwa, ye ne Patri mu bwakatonda be bamu ddala: byonna mwe byakolebwa.

Oyo olw’okubeera ffe abantu, olw’okutulokola yava mu ggulu n’akka. N’afuna omubiri mu Maria omubeererevu ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, n’afuuka omuntu.

Era olw’okubeera ffe, yakomererwa ne ku musaalaba, n’abonaabona ku mirembe gya Ponsio Pilato, n’aziikibwa, n’azuukira ku lw’essatu nga bwe kyali mu biwandiiko. N’alinnya mu ggulu, atudde ku gwa ddyo ogwa Patri. Alijja ogw’okubiri n’ekitiibwa okulamula abalamu n’abafu, obwakabaka bwe tibuliggwaawo.

Nzikiriza ne Mwoyo Mutuukirivu, Omukama era awa obulamu, ava mu Patri ne Mwana gwe tusinza awamu ne Patri ne Mwana, ne tumugulumiza kimu, eyayogerera mu Balanzi.

Nzikiriza ne Eklezia omu, omutukuvu, Katolika, eyava mu Batume. Njatula Batismu emu esonyiwa ebibi. Era nnindirira okuzuukira kwabafu, n’obulamu obw’emirembe egirijja.

Amiina.